Isaiah 49:17-23

17 aAbaana bo banguwa okujja era abakuzimba balisukkuluma ku bakuzikiriza
era abo abaakuzikirizanga balikuvaamu bagende.
18 bYimusa amaaso go otunule enjuuyi zonna olabe.
Abantu bo beekuŋŋaanya bajja gy’oli.
Nga bwe ndi Katonda omulamu,
balikwesiimisa, obambale ng’ebikomo n’emidaali ebyebbeeyi
ng’omugole bw’ayambala malidaadi,” bw’ayogera Mukama.

19 c“Wadde nga wazika n’olekebwa awo ensi yo n’ezikirizibwa,
kaakano ojja kubeera mufunda nga toja mu bantu bo,
era abo abakuteganya
banaakubeeranga wala.
20 dAbantu bo abazaalibwa mu buwaŋŋanguse
lumu balyogera ng’owulira nti,
‘Ekifo kino nga kifuuse kifunda bulala;
tuwe ekifo aw’okubeera.’
21 eN’olyoka oyogera mu mutima gwo nti,
‘Ani eyanzaalira abaana bano bonna?
Nafiirwa abaana bange bonna ng’ate ndi mugumba.
Nawaŋŋangusibwa ne nsigala nzekka.
Bano baava ludda wa?
Nasigala nzekka,
naye ate bano, baava wa?’ ”

Okuzzibwawo kwa Isirayiri mu Kitiibwa

22 fBw’atyo bw’ayogera Mukama Katonda nti, “Laba, ndikolera abamawanga obubonero
era ndiyimusiza abantu ebbendera yange:
era balireeta batabani bo nga babasitulidde mu bifuba
ne bawala bo nga babasitulidde ku bibegabega byabwe.
23 gEra bakabaka be balibeera ba kitammwe babalabirire,
ne bannabagereka babeere bamaama ababayonsa.
Balivuunama mu maaso go nga batunudde wansi;
balikomba enfuufu y’omu bigere byo.
Olwo lw’olimanya nti nze Mukama,
abo bonna abannindirira n’abansuubiriramu tebalikwatibwa nsonyi.”
Copyright information for LugEEEE